1 Chronicles 25:6
6 aAbo bonna baavunaanyizibwanga ba kitaabwe, olw’okuyimba mu yeekaalu ya Mukama, nga bakuba ebitaasa, n’entongooli, n’ennanga, olw’okuweerezanga okw’omu nnyumba ya Katonda. Asafu, ne Yedusuni, ne Kemani baali bakolera wansi kabaka.